OMUTANDISI W'EKIBIINA EKY'ABA
AHAMADIYYA YAVUMA NABBI MUHAMMAD (S.A.W.)
Biwandiikiddwa Dr. Syed Rashid Ali
ENNYANJULA
Amateeka gonna ga Allah, ali obw'omu era ali obwa Nnamunigina. Okusaasira n'emirembe bike ku Nnabbi Muhammad (S.A.W) oyo oluvanyuma lwe teri Nnabbi mulala.
Abangereza bwe b’awamba obufuzi nga ba bunyaga ku Basiraamu aba Ssemazinga wa Buyindi; abasiraamu batandika okwekalakasa entakera era ne ba lwanilira e Ddiini yaabwe. Kino ky'awaliriza obwakabaka bwa Bungereza okulondawo akakiiko kabulirize era kazuule awamu n'okutema empenda butya endowooza y'okulwanilira obusiraamu (Jihad) bwe kakkanyizibwa, kabe kasinge, n'okusanyizibwawo ddala. Oluvannyuma olw'emyaka ebiri nga akakiiko kano kakola obutassa mukka, k'awaayo alipoota yaako eri palamenti ya Bungereza ng'omutwe gwayo gwaali gugamba bwe guti:
THE ARRIVAL OF BRITISH EMPIRE IN INDIA
(OKUTUUKA KW'OBWAKABAKA BWA BUNGEREZA MU BUYINDI)
Mu alipoota yaabwe eyo mwe batebelereza nti amagezi g'abasiraamu gamala gagobelera mukulembeze mu ngeri ya kizibu kya’amaaso.Era kye baava bawa amagezi nti wanonyezebweyo omuntu bbo gwe baayita omutuufu ng'ayinza okweyita Nabbi era ng'asobola okutuukiriza ekyo kye baatebereza. Mirza Ghulam Ahmad ye yalondebwa okukola omulimu ogwo olw'ensonga nti bajajjaabe baalina olujegere olw'amanyi olwabayunganga n'Abangereza, Era baatunulira embeeraaze ez'obutamanya Ddiini. Wabula nga munyikivu ku ddiini eyo bwe batyo ne bamulabamu embeera z'omuntu gwe baali banonyeza ddala era eyali asobola okutuukiriza ebyo byonna bye baali bagala ate nga yali mwetegefu okubayamba mu byonna.
Nga wayiseewo emyaaka, Mirza yawandiika ebbaluwa nagiwereza Gavana Jenero ow'essaza lye Punjab nga akakasa ekyo kye yali eri Abangereza, era yabagamba nti ye, Y'ENDOKWA EYEEMEZA YOKKA EY’OBUFUZI BWA BUNGEREZA. Ebaluwa eno kitundu mu kitabo Mirza kye yawandiika ekiyitibwa Kitab-ul Bariyyah, Rooham Khazain Vol 13 P 350. obujulizi obwo obuli mu kitabo ekyo bweyolefu eri oyo yenna ayagala okumanya amazima. Bwe batyo kye baava ba mupangawo atandike ng'omuwereza w'obusiraamu n'oluvannyuma yefuule nga ye w'okubuzza obupya era bw’atyo agendelere nga yefuulafuula ng'eno bwayingira emitendera egy’enjawulo mbu nga gyonna Katonda amala kutuma bubaka gy'ali- Mirza.
Embeera nga zino ez'obutabufu bw'omutwe ze zamuwaliriza okugenda mu maaso awataali kutya na kusonyiwala ne yepaatiikako emitendera egyo egy'enjawulo. Yatandikira ku kweyita omuwereza w'obusiraamu era omuwereza wa mutume, wuuyo mbu ye Mujadid ow'omulembe guno era mbu yeyatumwa okujja okuzza obupya eddiini y’obusiraamu n'okubulung’amya mbu, mu kkubo eggolokofu. Teyakoma awo wuuyo alanze atandise okweyita Muhaddith mbu afanana Isa ibn Maryam ate oluvanyuma ne yeyita Maryam. Bwe yamala ate ne yeyita nti ye Isa ibn Maryam (Masiih eyalaganyisibwa) oluvannyuma olw'okweyita ebyo waggulu yatandika okukola ‘akotogo n'omugoyo’ n’alyooka yeyita Imam Mahdi- Nnabbi, omutume, Adam, Seth, Nuhu, Ibrahim, Isa'ak, Ismaelah, Yusufu, Daudah, Sulaimani, Lord Krishan, Jai Singh Bahadur nkugambye!! Tewali kigingi kyali kisobola kumuziyiza kweyita buli ekyamujjiranga mu bwongo!! Oluvannyuma katweewungu ono yeyongeza ebitiibwa ebilara by'ataali wuuyo okutuusa lwe yeyita nti ye NNABBI MUHAMMAD eyali akomyeewo omulundi ogw'okubiri, kyeyava awandiika mu kitabo kye ekiyitibwa Roohani Khazain bwati;
Oyo yenna ateekawo enjawulo wakati wange ne Mustafah, abeera tandabangako wadde okunetegereza.
[Bikoppeddwa mu kitabo ekyaba Kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain omuzingo 16 P. 259]
Mirza Ghulam Ahamd ye yatandiikawo ekibiina ekiyitibwa Ahamadiyya Muslim Mission nga kati bukya kitandiikibwawo gisoba mu myaaka ekikumi (100+years) era ekibiina kino kyeliisa nnyo enkuuli ne kiyita nakuli, [ng'omufu awunya], mu biseera Abangereza we bafugira Buyindi era na bulikati kilabilirwa awamu n'okuvujjilirwa omusimbi omungi okuva mu Bungereza. Era oluselegendde olw'abo abakilabilira munsaangi zino lweyongedde okuwanvuwa ng'abamu kubo abalulimu beebo abalina okutya nti singa obusiraamu buneyongera okusomesebwa, ne bugaziwa awamu n'okukulakulana ebigendelerwa byaabwe bituuse okufumwa obufumwa. Wabula abalabe b'obusiraamu abo bakimanyi bulungi nti singa omuntu yenna ayingira obu Ahamadiyya abeera si musiraamu.
Ba Masheikh abakulu abamanyi b’obusiraamu mu nsi yonna begattira wamu mu lukungaana olw'abamanyi olwatuula mu 1974 mu kibuga ekikulu Makkah-al-Mukharramah nga lwetabwaamu abamanyi abaava mu mawanga g'obusiraamu 124, mu lukiiko lwabwe oluyitibwa Rabita al- A'lam al Islami, nti MIRZA GHULAM AHMAD YAVA DDA mu BUSIRAAMU (Murtad) ERA MUKAFIIRI ERA N'ABO ABAGOBEREZIBE KA BABE NGA BEYITA BA KADIYANI OBA BA AHMADIYYA OBA BA LAHORI ABO BONNA SSI BASIRAAMU .
Aba Ahamadiyya munsangi zino bagenda balimbalimba bambi abasiraamu naddala abo abataafuna mukisa kusomesebwa ddiini yaabwe ey'obusiraamu era ne bakozesa n'embeera y'obwaavu obuyitiridde obuli mu basiraamu mu byaalo nga babawa obuyambi gamba nga obw’okubasomeseza abaana ku bwelere okuzimba amalwaaliro n'ebilara ng'ebyo bibasobozese okubasendasenda era n'ebitabo byabwe; ng'ojjeeko ebyo bye bakweeka, nga Haqeeqat-al wahayi, Khutbah-e- Ilhamjah, Kalimatul Fasl, EK Ghalti ka izala, Brahiin-e-Ahmadiyya Roohani Khazain n'ebilala naye byonna ebisigaddeyo, naddala bye bagaba munsangi zino byo bisiigabusiizi mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmad muzigo na kulaga nsi nga bwe yali omuntu eyakolelera ennyo obusiraamu n'okubwaagala. Naye bewalira dda okubaako kye bawandiika ku bigaambo ebyayogerwa mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmad nga bisangibwa mu bitabo ebyo ebyogeddwako waggulu n'ebilara bingi nga bwe tunagenda tubibabyooleka.
Emabegako, mu myaaka mitono egyakayita waliwo obupapula obwaali busaasaanyizibwa mu nsi yonna nga abekibiina ky'aba Ahamadiyya be baali babugaba ku bwelere. Bwaliko omutwe ogugamba nti Ahmad in praise of Muhammad (amakulu: Ahmad nga bwe yatendereza Muhammad)
Ku lw’abo abatamanyi bya buwangwa bya nsi ezo azetolodde Buyindi, katubayambeko okubannyonnyola ebikwata ku mannya nga Ghulam Ahmad, Ghulam Rasuul oba amannya nga Ali aba Abdul Rahman n'amalala ng'ago. Amannya ago gaba mannya magatte era gegano: Ghulam (muddu) Ahmad (owa Ahmad); ng'era ne Ghulam Rasool bwe kitegeeza omuddu wa Rasuul, Ghulam Ali kitegeeza Omuddu wa Ali oba omuwereza wa Ali ne Abdul Rahman nakyo bwekityo bwekiri.
Kale kiwaawaaza amatu okuwulira omuntu eyeeyitanga Ghulam Ahmad Omuddu wa Ahmad ate ne yeefuula era ne yeyita nti kati ye Ahmad!
Ddala kisoboka omuddu okwenkanankana ne mukamaawe!? Akatabo ako (Ahmad in praise of Muhammad) kaawandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad Kadiyani ng'ono ye mutandiisi w'ekibiina eky'aba AHMADIYYA MUSLIM MISSION. Era kaagezako nnyo okumetta ebizigo omukulembeze waabwe nga bwe kawa ebifananyi ebilaga nga Mirza bwe yali ayagala ennyo Nabbi Muhammad (S.A.W.), eyatanderezanga ennyo Allah , Qur'aan n'obusiraamu, wabula abasinga kye batamanyi ge mazima nti obulamu n’obuwangaazi bwa Mirza bw’ayawulwamu emiteeko esatu. Era gye gino:
1. Omuteeko ogusooka ky'ekiseera nga tanaba kuva mu Busiraamu. Ekyo nno ekiseera kiviila ddala mu buto okutuusa mu myaaka egy'obukulu. Olw'okuba Mirza yazalibwa mu maka amasiraamu ama Sunni, yali omusiraamu omujjumbize era mu kiseera kino mwe yawandiikira ebitabo ebyaali bimwogerako ng’omusiraamu eyali ayagala ennyo Nnabbi Muhammad (S.A.W.) era ng'eyali omunyweevu gguluggulu ku ddiini owa Ahli Sunnah wal Jama'ah era eyali yettanira ennyo okuwelereza obusiraamu. Mirza tewaliwo ssomero lisomesa Ddiini (madarassah) lye yali asomeddemu, wabula yasomerasorako awaka, era teyatuulako mu maaso ga Shaikh. n'omu n'amusomesa Tariqah. (ebyaafaayo ) Bw'atyo bambi natafuna mukisa kulambikibwa na kukumwakumwa mu by’okulyoowa emyooyo nga bwe yali enkola mu biseera ebyo. Wabula ye musajja wattu yeyambayambanga yekka ku buli kitabo kye yagwikirizanga nga ye bambi asoma busomi ssi nsonga oba bayali biwandiikiddwa balabe ba Busiraamu oba nedda. Bw’atyo n’atafuna kulung’amizibwa kutuufu era buli ekyamujjiranga mu bwongoobwe ye kye yasalangawo awataali na kufumintirizanga. Ekyo nno ky'ekiseera we yatandiikira okuwasa naye, nga kyali kizibu okumutegeera kiki kye yali.
2. Ggwo omuteeko ogw'okubiri ogw'obuwangaazi bwa Mirza kye kyaali ekiseera we yatandiikira okwolesa obunnanfuusibwe era n'atandika okwegaana ebyo bye yali asoose okwogera n'okuwandiika. Nga wayiseewo ekiseera bw’atyo yeyoongera okujeema n'okufuuka kiwagi era bw’atyo yagenda mu maaso okwogera wamu n'okufulumya ebiwandiiko ebivvoola , okukyankalanya wamu n’okufutyanka obusiraamu. Kino nno ky'ekifananyi eky'embeera Mirza Ghulam Ahmad gye yali atuuseemu era ab'ekibiina ekya Ahmadiyya Muslim Mission kye batayagalira ddala kwoolesa eri abantu. Era balafuubana nnyo okulaba nti tewali kiwandiiko kyonna mu biwandiiko bya Mirza eby'ekiseera ekyo ebyali bifulumiziddwa ne bilagibwa abantu okujjako bino ffe bye tutandiise okuvvunula nga tubigya mu Lurimi olu Urdu ebimaze ebanga ng'ekibiina ky'aba Ahamadiyya kibikusise.
3.Omuteeko ogw'abuwangaazibwe agw'okusatu gwegwo ogukwaata ku mbeera z’obulamu bwe era Mirza Ghulam Ahmad we yawandiikira nakkiriza nti yali mulwadde olukunkumuli lw'endwadde nge’ezimu zatuuka n'okumunafuya ate oluusi n'okumutabula obwongo!
Mu zimu ku ndwadde Mirza ze yalwaala mwe muli zino:-
Melancholia (Manial Depressive Psychosis)
( ) Mirraq (Hypochondriasis) ( ) Amnesia ( ) Forgetfulness( ) Insomnia ( ) Hysterical fits ( ) Nervous Breakdown ( obulwadde b'wokuko) Dizziness (Kamunguluze) Diabetes Mellitus ( obulwadde bwa Sukaali) Excessive urination of up to 100 times per day (okukunkumula omusulo emilundi egisoba mu kikumi buli lunaku) yemulugunyanga entakera nti yagwebwangamu nnyo amaanyi g'ekisajja era nga tasobolera ddala nakugezaako "Kukiika mbuga ‘yadde okukombyaako". Emirundi mingi yanyumyanga amalagala ag'enjawulo ge yakozesanga oba okulagira abalala ne bagamutabulira. Mu gamu ku malagala ag'amaanyi ge yakozesaanga mwe muli gano: Tonic wine (lino lyongeza amaanyi mu muntu) ne Opium (nga kyo kino kika kya njaga) era yateranga okunyumya ng'agamba abantu mbu Malaika yeyamuyigirizanga mu birooto butya bw'anatabulanga eddagalarye ely'okumuyamba okufuna amaanyi g'ekisajja. Yagamba mbu olunaku lumu Katonda yamulagira mu kirooto atabule eddagala limuyambe okufuna amaanyi g'ekisajja kyokka opium (enjaga) teyabulamu era yeyasing’angamu obungi.
Abaffe katweebuuze:- Ddala Mirza yalina okwagala okusukkiridde eri Nnabbi (S.A.W.) Era ddala oyo naye mbu yali Nnabbi nga ye bwe yeyitanga? Abaffe ddala Mirza yali afuna obubaka okuva ewa Katonda? Nandiiki, ebikolwaabye byaali bikolwa bya mutabufu bwa mutwe olw'okukozesanga enjaga ne waragi?
Mu mpapula ezinadilira ng’enda okwongera okwoleka ebimu ku bigambo ebyakoppwa okuva mu bitabo ebiwelako nga byawandiikibwa MIRZA GHULAM AHMAD, kilyooke kisigalire eri mmwe abasomi baffe okwesalirawo ku kiki ddala omusajja ono kye yali. Era omu kummwe kimu*****ire eky'obuvunanyizibwa okwesalirawo oba ddala obyawandiikibwa eby'omutandisi w'ekibiina ky’abwe bwaali butamanyabwe oba ddala ekibiina eky'aba Ahmadiyya kigendelera bugenderezi okubikkilira n'okukusika obulimba buno obw'atekebwatekebwa obulungi.
EBYA MIRZA GHULAM NE KATONDAWE
Nga bakozesa ebiwandiiko by’abwe ebya pokopoko, aba Ahmadiyya bewaana ng'omutandisi w'ekibiina ky’abwe bwe yali ayagala ennyo era n'okutendereza Allah, wabula, bw'osoma ebitabo eby'awandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad era ye byagamba mbu bwaali bubaka (WAHYI) era mbu yafunanga n'okubikkulirwa (REVELATIONS and INSPIRATIONS) ojja kukisanga nti byonna bye yagamba mbu bwaali butume na bubaka byaali bimulambika bimuzza mu kkubo elyaali e ddala. sso ssi kkubo eggolokofu.
Mirza atugamba bw’ati mu bimu ku bitabo bye:-
"Olunaku kumu nze nalabira ddala mu kilooto nga nfananira ddala Katonda era bwentyo ne nzikkiliriza ddala nti obwa Katonda bunyingidde mu misuwa mwonna era mu mbeera afanana bw’eti mwe nayogelera nti twetaaga eggulu eppya wamu n'ensi empya. Era bwe ntyo ne ntonda eggulu n'ensi.
(Bino byakoppeddwa okuva mu kitabo ekyaba Kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain omuzingo 13 page 103). Ate yye ow'omukwano ng'ali nnyo ku lusegere ne Mirza ng'ayitibwa Qazi Yar Mohammed Kadiyani, mu kataboke akayitibwa Islam Quarbani, atunyumiza bino:-
"Olunaku lumu Hazrat Maseeh Mowood (Mirza) yatubulira embeera eyamutuukako ng'afuna obubaka. Embeera gye yalimu yali ng'eyo ey'omukyala era Katonda n'alyoka ayolesa amaanyi g'ekisajja eri Mirza. Ne bwe songerako ekyo kimala bumazi eri abo abasobola okutegeera".
(Bino byakoppeddwa okuva mukitabo eky’aba Kadiyani ekiyitibwa : Tract No. 34, Islam Quarban P. 12 nga kyawandiikibwa Yar Mohammed Qadiani, ow'omukwano nfaanfe owa Mirza Ghulam)
(Subhaana- Allah! Mulabe Katonda banange nga bwe bamutaddeko ogw'okulya ebisiyaga! Nsaba Allah atukingirize endowooza n'enzikkiriza ez'ekigwenyufu ng'ezo).
OBUBAKA MBU KATONDA BWE YAWA MIRZA
Mu kitabokye ekiyitibwa Haqeeqat-ul wahyi, Mirza atugamba mbu Katonda yamugamba bwati:
"Owange ggwe Mirza! Eggulu n'ensi nga bwe biri nange, na byo bwe biri ku ggwe. Gwe wava munze ng'obw’omu bwange era ng'obwa Nnamunigina bwange. Ggwe wava munze nga Namulondo yange bwe y’anvaamu. Ggwe wava munze nga mutabani wange…. Nze nkola ensobi era mungeri y'emu ntuukiriza…Nze nsiiba era mungeri y'emu nze ne nsiiburukuka…Ffe tukuwerezza amawulire gano amalungi: ogenda okuzaala omwana omulenzi agenda okubeera nga wamazima (HAQ) era ow'ekitiibwa (the MAJESTY) nga tewali njawulo ne KATONDA ng'asse okuva mu Ggulu. Ffe amawulire ge tukuwa ga mwana mulenzi".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Haqiiqat-ul; Wahyi, Roohani Khazain, omuzingo 22 olupapula 79-99).
MIRZA GHULAM AHMAD BYE YAYOGERA KU NNABBI MUHAMMAD S.A.W
Ebitabo bingi ebya pokopoko ebisaasaanyizibwa aba Ahmadiyya era bijjudde ebigambo ebimatiza omuntu nga bikkatiriza nga Mirza bwe yalina okwagala okuyitirivu eri Nnabbi Muhammad (S.A.W) Wabula bw'ofuna omukisa n'osoma ku bitabo Mirza bye yawandiika, mangu nnyo okizuura ng'ekifaananyi kya Mirza kyawufu nnyo okuva ku ekyo ekibiina ky’aba Ahmadiyya kye batuwa.
Bino wamanga byakoppwa okuviira ddala mu bitabobye byennyini era bitulagira ddala ekifananyi ekyewunyisa ate nga kyawukanira ddala n'ekyo ekibiina ky'aba Ahamadiyya kye kituwa. Mu bimu ku bintu ebisinga okusamaliriza kwe kubeera nti Mirza yakyuukyuusanga ebyo bye yeyitanga. Yasoka kweyita OMUWEREZA WA AHMAD (MUHAMAD) oluvannyuma omukwano gwe yalina eri Nnabbi mbu gw’amubugaana.Wuuyo atabuse ate kati yeyise Muhammad (S.A.A.W) Naye abagobelezi be (abakadiyani, oba bayite aba Ahmadiyya, oba aba Lahori, oba kale bayite aba Mirzayi) ebyo byonna oba babimanyi!? Bwe babeera nga babimanyi lw’aki Ddala kale babikkilira n'okukusika ebigambo ebivundu ate nga bya kigwenyufu ebifanana ng’ebyo?
MIRZA YAGAMBA MBU YE MUWEREZA ERA OMUKWANO GWE NE NNABI (S.A.A.W ) ‘GUBASAZA MU KABU’
Nga bwe by’awandiikibwa mu katabo ak'aba Ahmadiyya akayitibawa akhbar Alhakm Qadian, omuko ogwa 23,Mirza yasooka kweyita mbu ye Ghulam(omuddu) owa AHMAD (S.A.A.W) yagamba bw’ati : "omwetoowaze wabwe ono ssi NABBI ne wankubadde OMUBAKA,wabula ye MUWEREZA WA NABBI OWA WANSI ENNYO era OMUGOBEREZI WE…"
(Bino bikoppeddwa okuva mu katabo ak'aba Kadiyani akayitibwa: statement of Mirza Ghulam Ahmad, Akhbar Alhakm Qadiam No.23 vol.5)
Teyakoma awo wabula yeyoongera okugamba abagoberezibe bwati:
"Oluvanyuma lwa Katonda, tewali mulala gwenjagala nga Muhammad. Bwe kibeera nga kino kigambo kya buttakkiriza, mbalayilira oyo ey’antonda nti buno bubeera butakkiriza obw'ekika ekya waggulu".
(Bino bi kkoppeddwa okuva mu katabo ek'aba Kadiyani akayitibwa: sayings of Mirza in pamphlet "Ahmed in praise of Muhammad P.1).
Bwe yamala okumatiza abagoberezi be nga bwe yali mbu ayagala ennyo Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ate yataama butaami: anti yabagamba nti ate okwagala kwe yalina kwayita nawo kuukwo ku musitudde okutuusa lwe kwamufuula Muhammad. Mirza yagamba bwati:-
"Era Allah yassa kunze ekyengera eky'obwa Nnabbi owekitiibwa era n'akijjuza era n'ampa ekisa n'okwagala ng'okwo Nnabbi ow’ekisa oyo yenna eyegatta ku kibiina kyange (eky'aba kadiyani) abeera ng'afuuse omu ku ba swahaaba ba mukama wange- oyo asinga ba Nnabbi bonna. Kino kyeyolefu eri abo abalina obusobozi obw'okufumintiriza ku bigambo bino [n'abalala mu bo] kye bitegeeza. Omuntu oyo yenna ayawula wakati wange ne Mustafa (ntegeeza Nnabbi (S.A.W.) abeera nga tannantegeera yadde okundabako.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani vol. 16 pp. 258-259)
w'ayitawo akaseera mpa we kaaga, olwo Mirza n'atabuka wuuyo atandise okweyita Nnabbi S.A.W. bw'atyo eyali GHULAM (Omuddu) kati ate YAFUUKA OMUKULU.
MIRZA GHULAM ATANDIKA OKWEYITA MUHAMMAD S.A.W
Mirza yagamba bwati:
"Muhammad-ur-Rasuulullah wal-ladhiina ma'ahu alal kuffar ruhamaa'u bainahum"
mu bubaka buno Katonda y'antuuma Muhammad era mu negri yeemu n'antuuma omubaka
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba Kadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain vol. 18p. 207).
Mirza Ghulam y'eyongera okugamba bwati:
"Ow'ekitiibwa Nnabbi yajja mu ngeri biri-oba ka ng'ambe nti mu lujja luno olw'okubiri olwa Burrozi, okwo kwe kudda okwa Nnabbi okwasubizibwa era kw'atuukirizibwa, bwe yajja oyo masiih era mahdi eyasuubizibwa".
Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 17p. 249).
Era yagamba bwati:
"Nze (Mirza Ghulam Ahmad) nkiding'anye emirundi mingi nti okusinzira ku aya eya Qur'an "Wa akhareena minhum iamma yalhaqoo behim" Ye nze Buroozi era emabegako mu myaka 20 egiyiseewo, Katonda y'antuuma MUHAMMAD era AHMAD mu kitabo kye ekiyitibwa Braheen-e-Ahmadiyya era n'alangilira nti nze Katonda
(Bino by'wandikibwa mu kitabo eky'aba Kadiyani kiyitibwa Aik-ghalti ka azala, Roohaan Khazain vol. 18 p. 212.
Mirza teyakoma awao! Yeeyongera n'agamba bwati:
"Nnabbi (S.A.W.) yazalibwa emirundi ebiri: nga Nnabbi ate mu ngeri endala ky'asuubizibwa nti Nnabbi (S.A.W) agenda kuzalibwa omulundi ogw'okubiri era kino ky'atukirizibwa bwe yafuusibwa era n'azalibwa nga yye ye masiih era mahdi eyasuubizibwa."
(Bino bikoppeddwa okuva okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Tohfa-e-Golravia, Roohani Khazain vol. 17 p. 249).
Era Mirza bw'atyo ne mu kitabokye ekiyitibwa EK Ghalti ka izala, Roohani Khazain vol. 18 page 212 yagamba bwati:
"Bwe mbeera nga nze eyafuusibwa Nnabbi era bwe bibeera nga eby'atuukirizibwa ebya Muhammad nabyo bitwalirwaamu n'obw'obu Nnabbi nga bwe byeeyolekera mu kifananyi ky'ekisikirize kyange, kale ate ani oyo eyeepaatiseeko obwa Nnabbi omulala?".
Bwe bityo ebiwandiiko n'enzikkiriza ng'ebyo eby'awandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad bye by'awaliriza abagoberezibe okwolesa mu lwaatu enzikkiriza y’abwe awatali kwemotyamotya era ekyo kyabawaliriza okugamba bweebati:-
"Ddala kituufu Mirza Basheer Ahmad ( ng’ ono ye mutabani wa Mirza Ghulam) yagamba bwati:-
"Masih Mowood ssi wanjawulo ne Nnabbi (S.A.W), wabula bafananira ddala era yye , y’akomyeewo mu nsi muno ng'ali mu kifananyi kya Buroozi…. N'olwensonga eyo mmwe mulaba waliwo okubuusabuusa kwonna nti Katonda nate tatusidikidde Nnabbi mulala eno ewaffe mu Kadiyani?"
(Bino By'awandiikibwa mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Kalimat Alfasl pp. 104-105, Review of Religions Qadian March 1915)
Mirza yeeyoongera okutabuka, n'agamba bwati:-
"Kakati Kino kyelaga kyokka nti bwe kibeera nga okuwakanya okukkiliza mu Nnabbi ow'ekitiibwa nga kigambo kya BUKAAFIRI, olw'ensonga nti oyo Masiih eyasuubizibwa si wanjawulo ne Nnabbi wabula nga be bamu era bw'abeera ng'oyo agaana okukkiliriza mu Masiih eyasuubizibwa ssi MUKAAFIRI kibeera bwe kityo nti n'oyo aba awakanyizza Nnabbi tabeera MUKAAFIRI.)
(Bino bikopppedwa okuva mu kitabo ky'aba Kadiyani ekiyitibwa:Kalimat Alfasl.pp.146-147.Review of religion,Qadian,march-April1915)
Era yagamba nti:
‘Waliyo okubuusabuusa nti katonda teyasindika nate Muhammad (S.A.W) e kadiyani asobole okutuukiriza ekisuubizo kino?"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani ekiyitibwa:Kalimat al Fasl ekya Mirza Basheer Ahmad. Review of religions p.p.105 No 3 omuzingo 14).
MIRZA AGAMBA MBU YE NE NNABBI MUHAMMAD (S.A.W) BENKANANKANA.
Mirza yakozesa nnyo akakodyo k'okwefanaanyiriza Nnabbi. Era kyeyava agamba nti:-
"Oyo yenna ateekawo enjyawulo wakati wange ne MUSTAFA (S.A.W.), abeera tandabangako yadde okunnetegereza".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Roohani Khazain, omuzingo 16 p. 171).
Ate lwo olupapula olw'amawulire olutongole olwoogelera aba Ahmadiyya oluyitibwa Al-Fazl lw'awandiika bwe luti:-
"Ekifananyi ky'oyo Masiih eyalaganyisibwa (Mirza) mu maaso ga Allah, tekirina njawulo n'ekya Nnabbi (S.A.W) oba ka tugambe nti mu biwandiiko ebiri ewa Allah, tewaliyo ndabika ndala oba enjawulo wakati w'oyo eyalaganyisibwa ne Nnabbi Muhammad (S.A.W) wabula, bombi balina ekitiibwa ekyenkanankana era n'eddaala ly'abwe bali ku limu; ekifo wamu n‘elinnya ly'abwe byombi by'ebimu. Ne wankubadde nga mu bigamba byaabwe tebafanana, naye ate mu mibiri baali omuntu omu era be bamu.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Al-Fazl, Qadiani, vol. No. 37 era ne kiwandiikibwa ne mu lupapula lwaabwe olw'amawulire oluyitibwa Qadiani Mazhah ku p. 207, 9th Edition, olwaafulumira mu kibuga Lahore- Pakistan nga 16th September, 1915).
SHAHAADAH Y'ABA QADIAN
Ebiwandiiko ebifanana ng'ebyo bye tulabye waggulu bye bimu ku ebyo eby'aletera abagobelezi b'omusajja eyatandikawo ekibiina kyaba AHMADIYYA MUSLIM MISSION okufuna era n’okuteekawo enzikkiriza yaabwe bwe b’agamba bwe bati:
"Masiih eyalaganyisibwa bw’amala okujja enjawukana emu ye yafunibwa (ng'ekwata ku makulu ga Kalimat shahaadah) era ekitegeezebwa kiri nti nga Masiih eyalaganyisibwa tannatuuka, ba Nnabbi bokka ab'emirembe egyayita bebateekebwa mu makulu g'ekigambo kino: "Muhammadur Rassulullah"
NAYE, Masiih eyalaganyisibwa bw'amala okutuuka, NE KWONGERWAKO KU MAKULU G'EKIGOMBO MU HAMMADUR RASSULULLAH EKIGAMBO "NNABBI OMULALA OMU….ne kibeera nti omuntu yenna okusilamuka, Shahaadah eyo y'emu gy'alina okwogera, ng'enjawulo yokka eliwo kwe kwongerwako okwa Nnabbi omulala (Mirza Ghulam) ku makulu g'ekigambo ekyo oluvannyuma lw’okutuuka kwa masiih eyalaganyisibwa…tetwetaaga Shahaadah ndala yonna, olw'ensonga nti Masiih eyalaganyisibwa si wanjawulo ku Nnabbi ow'ekitiibwa (S.A.W), era nga bwe yagamba "Saara wajoodi wujoodahoo (omubiri gwange gw'afuuka ogugwe) era oyo yenna atwawulayawula: nze ne Mustafa abeera tampadde kitiibwa yadde okung’ulumiza ….kale oyo Masiih eyalaganyisibwa ye Muhammad Rassullullah yenyini akomyewo nate mu nsi muno asasaanye obuyisiraamu, n'olwekyo ffe tetwetaga Shahaadah ndala yonna. Yyee! Ekyo bwe kiri ssinga waali kubeerayo muntu mulala nga yatujjidde, twandiibadde (shahaadah endala) tugyetaaga…kale mwenna mufumintirize!!.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Kalimat-ul Fasil ku page 158 ekya Mirza Basheer Ahmad (mutabani wa Mirza Ghulam)
"Oluvannyuma lw'okuzaalibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa (Mirza omukadiyani) w'abalukawo enjawukana (Ng'ekwata ku makulu ga Shahaadah). Nga Masiih eyalanganyisibwa (Mirza omukadiyani) tannazalibwa mu nsi, nga Nnabbi, ebigambo "Muhammadur Rassuulullah" byaali bigatta amakulu gaabyo n’abo ab'amusooka; naye oluvannyuma lw'okufuusibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa (Mirza Omukadiyani) muno mu nsi nga Nnabbi, ekyo ky’aletera amakulu g'ekigambo Muhammadur Rassuulullah okwongerwaamu Nnabbi omulala omu. N'olweekyo, olw'okufuusibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa, Shahaadah, tegobebwa; wabula yeyongera kumasamasa nnyo. Mu binpimpi,shahaada eyo esigala nga y’amanyi n’eri Omuntu oyo ayingira obusiraamu. Enjawulo yokka eriwo y'eyo ey'okwongerwaamu Nnabbi OMU mu makulu g'ekigambo Muhammadur Rassuulullah oluvannyuma lw'okufuusibwa kwa Masih eyalaganyisbwa (Mirza omukadiyani)"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani eky’awandiikwa mutabani wa Mirza Ghulam ayitibwa Mirza Bashir Ahmad ekiyitibwa Kalimat-ul-Fasl ku page 158.
"Ka nyongereko ne kino: ne bwe twandikkirizza, nga tutebereza ekyo ekitasoboka, nti erinnya lya Nnabbi ow'ekitiibwa (S.A.W) ly’ayongerwa ku Shahaada olw'ensonga nti yye ye w'enkomelero mu ba Nnabbi; era ekyo tetukisangamu kabi era tuba tetwetaaga Shahaadah ndala olw’ensonga nti Masiih eyalaganyisibwa y'omu ne Nnabbi ow'ekitiibwa ng'era ye (Mirza) yennyini bw'agamba: " Nga bw'olaba nze bwendi tewali njawulo ne Muhammadur Rassuulullah". Era "Oyo yenna atwawulamu wakati wange ne Mustafa abeera t’ampadde kitiibwa yadde okung'ulumiza" Era eky'ava mu kigambo kino kwe kubeera nti ow'ekitiibwa Allah yasuubiza nti agenda kunfuusa mbeere ‘KHATAM UN NABIEEN’ muno munsi omulundi omulala nga Nnabbi ng'obukakafu tubufuna mu kigambo ‘ N'abalala mubo…’Bwe kityo ne kiba nti masiih yalaganyisibwa (Mirza omu Kadiyani) muye mulimu ne Muhammadur Rassuulullah , oyo Masiih eyafuusibwa mu nsi muno nate asassaanye obusiraamu. Kale tekitwetagisa kubeera na Shahaadah mpya nate. So ng’ate ssinga yali nga muntu mulala yeyafuusibwa n'atabeera Muhammadur Rassuulullah, kyandyetagisizza Shahaadah endala. Kale mufumintirize.
(Bino nabyo by’akoppwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Kalimatul Fasl, page 158)
ABA KADIYANI NGA BWE BASAALIRA NNABBI MUHAMMAD (S.A.A.W)
Bo aba Kadiyani oba aba Ahmadiyya bagamba nti: okusinziira ku aya eri mu Surat-ul Al-Ahzaab 33:56 baggivvunula nti: Mazima Katonda ne ba malayikabe baagaliza Nnabbi emikisa. Abange mmwe abakkiriza! Mumusabirenga emikisa era mumulamusenga [olulamusaanira]era n’okusinziira ku ezo hadiiths omuli ebilagiro ebilagira oku weeleza Nnabbi (S.A.A.W) Ssalaam,era ne bwe kityo tulagirwa okuwereza Ssalaam eri Hazrat masiih mowood nga nakyo kino kyetagisa nga bwe kiri ne ku Nnabbi(S.A.A.W)
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Risala Durood Shareef, eky'awandiikibwa Mohd Ismael Qadian p. 136)
Era bo aba Kadiyani bagamba nti "okusinziira ku bitabo eby'obusiraamu ebya Hadiths kyetagisa bwe tubeera nga tusabira Nnabbi (S.A.A.W) tugatteko n'abantu b'ennyumbaye. Era mungeri y'emu ate nga nakino nakyo kikulu nnyo, kyetagisa nnyo okuwereza okusaba emirembe eri Masiih Mowood kino kitusobozese obutabeera n'obutamativu mu kusaba emirembe okugatte eri Mirza. Ky'ava Hazrat Masiih Mowood atugamba bwati "Ebimu ku bintu abo abawakanyi abasirusiru bye bogera; bagamba nti abagoberezi b'omusajja ono (Mirza) bakozesa ebigambo ["Alaihe asswalatu w'assalaamu) era nti okwogera kino kiri HARAM. Abo mbaddamu bwenti "Nze Masiih eyasuubizibwa, ate nga ssi ekyo kyokka eky'okuwereza Ssalaamu, wabula ne Nnabbi (S.A.A.W) naye yakikkatiriza nti oyo yenna anazuula Masiih omuwereze ssalaamu yange (Nze Nnabbi: era kisangibwa mu nkumi n'enkumi za Hadiths nga ssalaamu ewerezebwa eri Masiih eyalaganyisibwa. Kale bwe bibeera ng'ebigambo ebifanana bwe bityo nga bye by'ogerwa Nnabbi (S.A.A.W), ba swahaaba, ne Allah yenyini n'ayogera ku nze; kale kiyinzika kitya okubeera haramu eri ekibiina kyange (eky'aba Ahmadiyya) okw'ogera ebigambo ng'ebyo ku nze?"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Risala Durood shareef ,Arb’een No2.Roohan Kazain Vol.17 p349)
MIRZA YABBA AYA EZA QUR'AAN N'AZEPATIIKAKO.
Omusajja ono eyelangilira nga bwe yali ayagala ennyo Nnabbi (S.A.A.W) yabbinkira nnyo mu kiwarazima ky'okwagala kw'omwooyogwe okutuusa lwe yatandika n'okugamba nti afunye obubaka obuva mbu ewa Allah nga bumugamba mbu aya zonna ezakka nga zitendereza Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) kati mbu zikyusiddwa zitendereza ye- Mirza Ghulam.
Ab'oluganda Abasiraamu, kati mubikkule ekitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa HAQEE QAT-UL WAHYI ku muzingo ogwa 22 ogw'ekkung’aaniro ly'ebitabo eliyitibwa Roohani Khazain, bw'onobeera ng'otandikidde okusoma okuva ku lupapula olwe 77 okutuuka ku olupapula olwe 111, ojja ku kizuula nti Mirza Ghulam yawandiikamu ezimu ku ayats ye z'agamba mbu zamwolesebwa era mbu nga nozo ziri mu lulimu luwarabu. Omuntu yenna amanyidde okusoma Qur'aan kyangu okukizuula amangu nti ebigambo eby’awandiikibwa mu kitabo kino ekya Mirza Ghulam by'akoppwa bukoppwa okuva mu Qur'aan bulambalamba. Yagendanga awaganyikamu ayats ezo ezigulumiza n'okusuuta Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) era n'ezimu ku ezo ayats ezakozesebwanga Hazrat Ibrahim (A.S.)
Kakati ka tubaweeyo eby’okulabirako ebitonotono ku zimu ezo ayats Mirza Ghulam ze yabba era n'azepaatiikako mbu zassibwa ku ye.
Tukimanyi bulingi nti Allah awaana Nnabbi Muhammad ( S.A.A.W) ne ba Swahaababe era n'abagulumiza mu Qur'aan nga bwe tunalaba mu ayats zino wamanga:
Ø Mu surat-ul Fatha 48:29
"Muhammadur Rassuulullah wal-ladhiina ma'ahuu, ashidda'u 'alal kuffaar ruhamaa'u bainahum" Amakulu:
okumalira ddala ebyaasa kumi na bina, Abasiraamu babimazeeko nga tebafunangayo makulu malala gonna nga gavvunula aya eyo emanyiddwa obulungi. Naye obubaka (WAHYI) OBWASSIBWA KU MIRZA BW'AMUGAMBA MBU BWEEBUTI:
"Muhammadur Rasuulullah wal- ladhiina ma'ahuu, ashiddaa'u 'alal kuffaar ruhamaa'u bainahum…' ‘mu bubaka buno Katonda yantuuma MUHAMMAD era mungeri y'emu yantuuma OMUBAKA’.
(Bino Bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, omuzingo18 olupapula 207)
Mu ngeri y'emu Ka twongere okubawa ayats endala nga nazo Ssinga omuntu azisoma akiraba mangu nnyo nti nazo z'ali nga zisuuta n'okugulumiza Sydna Muhammad (S. A. W). Naye kyewunyisa ate mbu ayats zino mbu nazo ZASSIBWA KU MIRZA MBU NGA NAYE ERA ZIMUSUUTA N'OKUMUGULUMIZA. Mirza atugamba bw'ati:
Mu surat At-tauba 9:33
Ø ‘Huwa lladhii arsala rasuulahuu bil-huda...’
Ø Amakulu:
Yye ye yye eyatuma omubakawe n'obulung'amu
Mu surat banni Israaiila 17:1
Ø "Subhaana lladhi asraa bi 'abdihii…"
Amakulu:
Atukuzibwe oyo eyatwala omudduwe…Mu surat Al-'Imraan 3:31
Ø Qul in Kuntum tuhibbuna llaha fattabi- unii…"
Amakulu:
Gamba nti bwe mubeera nga mwagala Allah mungobelere
Mu surat Al-Fath 48: 1-2
Ø "Inna fatahnaa laka fat- ham- mubiinaa
Amakulu:
Ddala ffe twakugulirawo oluggulawo olweyolefu ….
Mu surat Yaasiin 36:1-3
Ø Yaa siin wal Qur'aanil Hakiim. Innaka laminal mur saliin ….."
Amakulu:
Yaaa siin ne Qur'aan ejjjudde amagezi. Ddala gwe oli wa mu babaka …..
Mu surat Al kausar 108:1
Ø Innaaa a'atwainaakal kawsar…"
Amakulu:
Ddala ffe tw'akuwa ebingi …..
Mu surat Al-Ambiga 21:107
Ø " wamaa arsalnaaka illa rahmata llil 'aalamiina"
Amakulu
Tetukutumanga wabula ng'oli kya kusasiza eri ebibuumbe
Mirza teyakoma ku kya kwepaatiikako mirimu gya nnabbi (S. A. W) wabula yatandika okweepaatikako n'ebitiibwa bye ebilara nga bino wamanga:-
1. Abantu b'enyumba ya mirza b'atandika okuyitibwa AHLI BAIT
2. Mikwano gya Mirza b'afuuka ba SWAHABA
3. Mukyala wa Mirza yafuuka UMM-UL M'OMINIIN
4. N'omuzikiti ogw'azimbibwa kitaawe gw'atandika okuyitibwa MASJID AQSWA ogwe KADIYANI
Mirza agambaaa nti okumala emyaaka 1400, Abasiraamu baali b'awubwa ebanga lye b'amala nga balowooza nti ekibuga yerusalemu kibuga kitukuvu. Era okusinziira ku Mirza Ghulam ye agamba nti omuzikiti ogwe AQSA omutuufu Nnabbi (S. A. W) gwe yagendamu bwe yalinya mu Ggulu mu kiro ekyo, amazima mbu go gali nti gwe ggwo oguli ku kyaalo kye Kadiyani.
Mirza ky'ava annyonnyola bw'ati:
Ø Aya mu Qua'aani eri mu surat Banii Isaaiila 17:1 egamba nti: " Subhaana lladhii asraa bi'abdihii lailam min-al Masjid-il Haram ilal Masjid Aqsa …
Amakulu:
Atukuzibwe oyo eyatwala omudduwe mukiro okuva mu muzikiti ogw’emizizo okugenda ku muzikitiogw'ewala.
Mirza Ghulam agamba nti ebigambo ebyo waggulu, amakulu g'abyo n'enkozesa y'abyo ebituufu bili nti: omuzikiti ogw'azimbibwa Taata wa Mirza era ogw'ayongerwako Mirza Kenyini gwe ggwo omutuufu ogw'ogerwaako.
(Bino Bikopeddwa okuva mu biwandiiko eby'aba kadiyani ebitibwa: Advertisment for collection of donation for Minarat-ul Maseeh. Collection of Advertisemnt vol. 3 page 286)
5. Ekifo ekye KADIYAN ky'afuuka ekifo eky'emizizo nga kati kiyitibwa ARDHI –E- HARAAM era oyo yenna alamaga mu kifo kino abeera akoze HIJJA ENTONO:
Ø "Kati ekifo ekye kadiyyani kya kitiibwa. Enkuyanja y'abantu abalamagayo ekifudde eky'omuzizo"
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky'ebitontome eky'awandiikibwa Mirza ekiyitibwa: Mirza Ghulam's poetry dur-e-sameen p.56).
Ø "Abantu bagenda okulamaga mu Hijja ne Umura. Naye okulamaga mu kifo kino (Jalsa Salana mu kadiyani) ofuna empeera empitirivu obungi okusinga n’oyo akoze Umura era oyo yenna alagajjalira ekikolwa kino abeera wa kabenje era ow'obulabe, olwensonga nti lino ekkubo (elyaba Ahmadiyya) kkubo ly'ava wa Katonda era kiragiro kye".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Alna-e Kamalat-e Islam. Roohani Khazani vol.5p.352)
Ø "Olw'ensonga nti abo bokka abalina obusobozi, be balamaga mu Hijja, nga ne wankubadde obubaka bw'asooka kusaasaanyizibwa mu baavu; abaavu bo b'asonyiyibwa obutakola Hijja. Ekyaava mu kino Katonda kyeyava atekawo ZUL-HAJJ endala kino kisobozese abantu abo Katonda ye b'ayagala okukwaasa omulimu gw'okusitula obusiraamu era n'abo abasiraamu abaavu ab'omu Buyindi kibasobozese okujetabamu.
(Bino bikopeddwa okuva mu lupapula lw'amawulire olw'aba Kadiyani oluyitibwa: Alfazl Vol. 20 No. 66 olwafuluma nga 1st Decmeber, 1932 nga yali khutuba ya khalifa w'aba kadiyani eyayitibwanga Mlan Mehmood Ahmad)
6. N'ekisembayo, naye nga si kye ky'enkomelero, abasikira Mirza Ghulam Ahmed b'atandika okuyitibwa "KHULAFA-E-RASHIDIIN".
OBUBAKA (WAHYI) MBU OBWASSIBWA KU MIRZA GHULAM
Mu kiseera kino Mirza yakalambira era n'atandika n'okwogera nga tewali na kwemotyamotya n'alangilira nti atandise okussibwako obubaka okuva ewa Katonda. Bw’atyo kye yava ayogera kaati bw’ati:
"Omusingi kwe twesigamizza okw'ogera bino te gwesigamidde ku zi Hadiths, wabula twesigamidde ku Qur'aan.Wabula tuzikozesa ezo zi Hadiths ezikwatagana ne Qur'aan era nga TEZIKONTANA N'OBUBAKA OBWASSIBWA KU NZE. Zo zi Hadiths ezisigadde NZIKASUKA ERI NG'EBISASSIRO"
(Bino bikopeddwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 19 page 140)
Ø "Mu kitabo Braheen-e-Ahmadiyya, Katonda y'ampita ng'akozesa elinya erya Ibrahim".
(Bino bikopeddwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Arba'een No. 3 Roohani Khazain, vol. 17 page 420).
Ø "Ensomesa yange erimu amateeka, ebiziyizo n'okuzza obupya amateeka amakulu mu shari'at. N'olwensonga eno, Katonda ensomesa yange n'obubaka byonna ebikka gyendi, kyavudde abituuma "elyaato". Kyemuva mukilaba nti Katonda kyavudde alangilira obubaka bwange, ensomesa yange n'okuwela kwe mpera mu maaso ge, n'abigerageranya n'elyaato elya Nuuwa ekyo kifuuke enunuzi oba eky'okununuzusa abantu bonna. Abalina amaaso basobola okukilaba n'abalina amatu basobola okuwulira".
(Bino pikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Arba'een, vol. 4 foot note of page 6 ne Roohani Khazain vol. 1.p 435)
Ø "Kino nkyogera era nga bwe ndayira n'erinya lya Katonda nti obubaka obwassibwa ku nze mbukkiririzamu ng’era bwe nzikkiririza mu obwo obuli mu Qur'aan n'ebitabo ebilala ebya Katonda. Era nga bwe siwakanya nti Qur'aan kitabo kya Katonda, era bw'entyo bwe nzikkiriza nti obubaka obussibwa ku nze bigambo bya Katonda ddala".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Haqeeqatul wahi Roohani Khazain vol. 22. p. 220).
Ø "Obukkiriza bwe nina ku bubaka obussibwa ku nze bwenkanira ddla n'obwo bwenina ku Qur'aan ne Tawleti".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Arba'een No. 4 ne Roohani Khazain vol. 17 p. 454).
Ø "Era ekigambo kya Katonda kyassibwa ku nze mu bungi era ssinga kikunng’anyizibwa tekisobola ku beera wansi wa bitundu amakumi abiri (20 parts).
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Haqeeqatul Wahi, Roohani Khazaini vol. 22 p. 407).
MIRZA AGAMBA NTI Y'ASINGA NNABBI MUHAMMAD S.A.A.W (ma'az Allah):
Wabula mirza Ghulam Ahmad yali tannamatira. Bw’atyo yeeyongera okuwankirawankira okwongerako. Buli muntu yenna asobola okukiteeba: Kino kwali kweyongerako mu by’okulyoowa kw'emyoyo oba bwali butabufu bwa bwongo? Ekyaddilira kwe kutandika okwelangilira nga bw'asiinga Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ekitiibwa n'okubeera owa wagulu. Kyeyava agamba bwati:
"Go amazima gasigala gakyali nti eby'emyooyo ebya Nnabbi S.A.A.W (nga bino tubilabira Mirza Ghulam ) mu kino ekiseera ekifundikira ekyaasa eky'omukaaga, bisingira ddala wala nnyo mu maanyi era n'okubeera ebituufu ssinga obigelagalanya wamu n'egyo emyaka egy'asooka, binanafa n'omwezi ogw’eggabogabo"
(Bino bikopeddwa kuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa khutba –e- iihamiah, Roohani khazain vol. 16 P. 271)
Ø "Nabbi waffe yatandika okufuna obubaka mu mwaka gw'enkumi ttano (5) (bwe yazalibwa e Makka) nga bwonna bujjuvu naye ekyo ekiseera tekyaali kutuuka ku ntikko y'okweyongera mu by'okukka kw'obubaka.Wabula,kyaali ntandikwa y’okujjuza obubaka. Oluvanyuma okweyongera kw'okussibwa kw'obubaka kw’ayolesebwa mu bujjuvu mu mwaaka ogw'akakaaga (guno gwe mwaaka gwe yaddamu okuzaalibwa mu kadiyani) nga kino kye kiseera kya kakano".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Mirza in Khutba-ilhamiya,Roohani Khazain,vol.16.p. 66).
Ø Mirza oluvannyuma yagamba abagoberezibe nti yye yaweebwa obubonero 300,000 wamu n'ebyamagero sso ng'ate yye Nnabbi (S.A.A.W) yaweebwa 3,000 bwokka. Ng'eno bwe yewaanawana, yawandiika mu kitontomekye bw’ati "Katonda yawa Nnabbi (S.A.A.W) eky'amagero kimu kyokka kye ky'okusiikirizibwa kw'omweezi, naye ate nze naweebwa byombi- eky'okusiikirizibwa kw'enjuba n'eky'omweezi. Kale munzikirize.
( Bino bikopeddwa okuva mu
kitabo eky’aba kadiyan iekiyitibwa:
Aijaz-e-Ahmadi,Roohani Khazain Vol
19p183)
Ø Mirza yeewaana nti, waliwo ebyaama ebikusike n'amakulu ga Qur'aan amakusike nga byo tebyayolesebwa eri Nnabbi Muhammad (S.A.A.W), naye ate nga Mirza by'amubulirwa. Ne kibeera nga bwe kiri bwe kityo nti Nnabbi (S.A.A.W) teyategeera makulu ga bigambo nga Ibne Maryam, Dajjal, endogoyi
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Izala-e-Auham, Roohani Khazain vol. P. 473).
Ø Era Mirza yagamba nti "Obusiraamu (obwa Nnabbi (S.A.A.W) bw'atandika nga bw'olaba omweezi ogw'embonekelera era ne buteekebwa teekebwa okufuuka obujjuvu nga bw'olaba omweezi ogw’eggaboggabo. (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain vol. 16. p. 184).
Ø Kino kyeraga kyokka nti Fath-e-Mubeen (obuwanguzi obw'olwatu) bw'atukibwaako mu kiseera ekya Nnabbi waffe (S.A.A.W) wabula, obuwanguzi obulala tebwaatukibwaako, ate nga bbwo bwe businga okubeera obweyolefu n'obukulu era bw'ateekebwa teekebwa butuukibweeko mu kiseera ekya Masiih eyalaganyisibwa".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Roohani Khazain vol. 16 p. 288).
Ø Omu ku bagoberezi ba Mirza yatontoma ekitontome ng’ali mu maaso ga Mirza Ghulam bwati:
"Ono gwe tulaba kati ye Muhammad akomyewo nate muffe era ekitiibwa kye kati kiyitirivu okusinga bwe kyaai oluberyeberye. Oyo yenna eyandyagadde okutunulira ku Muhammad ng’ali mu mbeeraaye ey'obwenkamu nkamu asaanidde amaaso ge agolokeze Ghulam Ahmad wano we tuli mu kadiyani".
Kigambibwa nti Mirza bw'amala okuwulira ebigambo ebyo, yaddamu bw’ati nti Jazakallah era oluvannyuma ekitontome ekyo ky'awandiikibwa mu nnukukuta ezaawundibwa obulungi ennyo, ne kiwanikibwa mu nnyumbaye.
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky’aba Ahmadiyya ekiyitibwa Qazi Zahoor Ahmad akmal Qadiani,ekyakubibwa ne mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa paigham-us sulh nga 14th March,1916 mu kyaalo kye kadiyani)
Ø Okukula kw'obwongo n'amagezi ebya Masiih eyalaganyisibwa (Mirza owe Kadiyani) byaali bya waggulu nnyo ekisukkiridde okusiinga ku ebyo ebya Nnabbi (S.A.A.W) era bino bye bintu byokka ebya ssukkulumya Masiih eyalaganyisibwa ku Nnabbi (S.A.A.W) ku lw’ensonga nti obwongo bwa Nnabbi (S.A.A.W ) bwaali tebusobola kukkako bubaka mu bujjuvu, olw'obukendeevu n'okubeera emabega mu bye’nkulakulana yadde ng'obusobozi bbwo bwaliwo. Wabula, mu nsangi zino,Obujjuvu bw'obubaka bweyolekedde mu Masiih eyalagayisibwa olw'ensonga nti waliwo okugenda mu maaso mu by'enkulakulana
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Review of Religions, ekyafufuma nga May 1929, wansi w'omutwe :Qadian Mazhab p. 266. 9th Ed. Lahore.)
MIRZA YAGENDA WALA MU KUKAKKANYA WAMU N’OKUTYOOBOOLA NNABBI MUHAMMAD ( S.A.A.W)
q Nnabbi Muhammad S.A.A.W teyategeera makulu agaali mu suula eyitibwa AL-ZILZALAH
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3 p. 166-167).
q Obubaka bwa Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) nabwo oluvannyuma bw'afuuka obw'obulimba
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahamadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3p. 474)
q Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) naye yakolanga ensobi bw'atategeeranga bubaka obwaabanga bumusseeko.
(bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 2 p. 224).
q Ekifo aw’aziikibwa Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) obusiraamu bukimanyi nti kifo kya kitiibwa nnyo. Naye Mirza yakikakkanya olukakkanya! (Nsaba Allah n'omubakawe b'ansonyiwe okuwandiika ebigambo bya Mirza ebitayisika mu kamwa) yagamba bwati: "Era Katonda naye yagenda okulaba ng'ekifo EKINYOOMOOFU BWE KITYO, EKIWUNYA BWE CHUCHUCHU, EKIFUNDA BWE FUNDAFUNDA ate nga KYA NZIKIZA BWE ZIBIZIBI. EKIJUDDE EMPITAMBI Y'EBIWUKA. Nga kyekisaanidde okuziikibwamu Nnabbi (S.A.A.W)
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 17p. 205).
MIRZA YEYITA NNABBI OW'ENKOMELERO
Mirza bwe yatuuka ku ddaala ely'okweyita NNABBI OW'ENKOMELERO, kino kyaali tekyewuunyisa muntu yenna. Era yatandika okugamba bwati:
Nkiding’anye emirundi mingi nti okusiinziira
ku ayat eri mu Surat-Al-Jumu'a 62:3 egamba nti, "wa aakhareena minhum lamma yalhaqoo behim…. Amakulu: Era (alituma n'eri) abalala mu bo abatannabegattako … mu ngeri eya BUROOZI (ekigambo kino kyavvunulwa aba kadiyani nga kitegeeza ekifananyi oba okubbula) Ye nze oyo Nnabbi KHATUM-UL-ANBIYA (Nnabbi ow'enkomelero) Era emyaaka abiri egyayita Katonda y'antuuma MUHAMMAD era AHMAD mu kitabo Braheen-e-Ahmadiyya era bw’atyo n'alangilira nti nze kifananyi ekya Nnamaddala ekya Muhammad (S.A.A.W). Era bwe kityo ne kiba nti obwa Nnabbi bwange tewali we bwawukanira mu kitiibwa olwensonga nti (Mirza Ghulam) nze Nnabbi ow'enkomelero; kubanga silabawo njawulo wakati w'ekisikirize n'ekyo mwekivudde anti nze kisikirize kya Muhammad era nze kifananyikye.
Era bwe kityo bwe kiri nti okufundikirwa kw'obwa Nnabbi ow'enkomelero kubeera tekutuseewo- kubanga obwa Nnabbi obwa Muhammad bwasigazibwa Muhammad."
Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Mirza Ghulam in Ek Ghalti Ka Izaala, Roohani Khazain vol. 8 p. 212.
q "Alina omukisa gwa njawulo oyo antegedde. Mu makkubo gonna agakutuusa ewa Katonda, nze kkubo elisembyeeyo. Era mu bitangaala byonna, nze kitangaala ekisembyeeyo. Oyo yenna anjabulira wa mukisa mubi nnyo kubanga nze wessili ate wadawo kizikiza."
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Kashti-e-Nooh, Roohani Khazain, vol. 19 p. 61).
q "Obwa Nnabbi bw'akoma ku Nnabbi waffe (S.A.A.W) n'olwekyo oluvannyumalwe teri Nnabbi mulala okujjako oyo yekka eyakilwaako ekitangaalakye era Katonda gwe yafuula nga yye gwe mwooyo gwa Nnabbi. Mukitegeere nti obw'enkomelero bw'obu Nnabbi bw'aweebwa Muhammad (S.A.A.W) okuviira ddala eyo ku ntandikwa; ate era ne buweebwa n'oyo (Mirza Ghulam) eyasomesebwa mwooyo wa Katonda era eyafuusibwa ekisiikirizekye. Bw’atyo alina omukisa oyo eyasomesebwa (nga ye Mirza). Bwe kityo ne kiba nti OBW'ENKOMELERO BW'OBU NNABBI bw’ateekebwateekebwa nga bwa kubelawo mu KYAASA EKY'OMUKAAGA, nga lwe lunaku olw'omukaaga mu nnaku eza Katonda…. Kale bwe kityo bwe kyaali nti: Masiih eyalaganyisibwa yazalibwa mu KYAASA EKY'OMUKAAGA."
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ekyaba kadiyani ekiyitibwa: Zamina Khutba Khamiah, Roohani Khazain vol. 16p. 310).
Ate ye mirza Basheer Ahmad ng'ono ye mutabani wa Mirza Ghulam yawandiika bwati:
"Eliyo omuntu omu yekka eyafuna eddaala ly'obwa Nnabbi mu kibiina (Ummah) ekya Nnabbi Muhammad… ng'ojjeeko ono Masiih eyalaganyisibwa (Mirza) tewaliyo mugoberezi wa Nnabbi Muhammad eyatuuka ku ddaala ely'okuyitibwa ekisikirize kya Nnabbi. N'olwekyo Masiih eyalaganyisibwa ye yekka eyalondebwa okuyitibwa Nnabbi".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Kalimat Al-Fasri, Review of Religious, Qadian p. 116, No. 3 vol. 14).
Ate ko akatabo akamawulire akatongole nga ke kogelera ekibiina eky'aba kadiyani k’awandiika bwe kati:
"Ebyawandiikibwa bino bikakasa bukakasa nti ng'ojjeeko Masiih eyalaganyisibwa, tewaliyo mulala ayinza kubeera Nnabbi….oluvannyuma lwa Nnabbi (S.A.A.W).Wabula ate, kyali kyetagisa okutumayo Nnabbi omu yekka, kubanga okujja okw’aba Nnabbi abangi ekyo ate kyali kijja kutataaganya amagezi n'enteekateeka ya Katonda.
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Tasheed-ul-azhan, Qadiani, No. 8, vol. 12, p. 11 dated August 1917).
MIRZA AGAJAMBURA OBUSIRAAMU
Mirza agamba:
OBUSIRAAMU OBWALIWO NGA MIRZA TANNAJJA EYO DIINI NFU.
· "Eyo mu mwaaka gwa 1906 Khwaja Kamaluddin yaleeta ekirowoozo n'agamba Moulvi Muhammad Ali akole endagaano n'omukung'aanya w'olupapula oluyitibwa Akhbar-e-watan obutabaako kye bawandiika nga kyogera akantu konna ku kabondo k’aba kadiyani, ku muko ogw'olupapula olwo ogukwaata ku kutunulira amaddiini, wabula, bawandiike era basasaanye ebintu ebya bulijjo ebikwata ku busiraamu era nti omukung'aanya w'olupapula watan ayongere okubunyisa mu lupapula luno obusiraamu nga kino kya kuyamba ku lupapula luno okwekkebejja ebikwata ku maddiini.
Masiih eyalaganyisibwa kino yakigaana era ne kiwakanyizibwa nnyo ekibiina kino (eky'aba kadiyani) Hazrat sahib yagamba:
"Mwaagala okusomesa obusraamu obufu eri ensi nga mujjeemu nze(Mirza)?
. (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zikr-e-Habib ekyawandiikibwa Mufti Muhammad Sadiq Qadian ku page 146, first edition).
· ‘Ffe tukkiriza nti eddiini etelina kweyongera kwa kujja kwa bubaka (nga bwe kiri mu busiraamu) ebeera Ddiini nfu. Amaddiini: ng'eyaba yudaya, ey'aba kuristayo n'eyaba Hindu ffe tugayita maddiini mafu: olw'ensonga nti tegakyalina ba Nnabbi mu go. Ssinga kino bwe kyaali ne mu busiraamu, twandibadde tusigalidde kunyumya bunyumya mboozi buboozi. Lwaki eddiini y'obasiraamu tugitwaala okubeera nti y’esinga amadiini amalala? Eteekwa kubeera nga yanjawulo.’
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Malfoozat-e-Mirza, vol. 10. page 127
MIRZA ALANGILIRA NTI EDDIINI Y'OBUSIRAAMU DDIINI NKOLIMIRE, YA SITAANI ERA ENNYOOMOOFU .
yagamba bw’ati:
"Eyo tebeera ddiini era oyo ssi Nnabbi asaanidde okugobelerwa ssinga omuntu tafuna kitiibwa kimusembeza ewa Katonda okunyumyaamu naye. Eddiini eyo ebeera NKOLIMIRE era ENNYOOMOOFU esomesa nti okukulakulana kw'omuntu kusinziira ku byafayo n'enfumo ebitonotono [ng'ebyo ebili mu Qur'aan ne shari’at-e Muhammadiyya nga byaatunyumizibwa Nnabbi (S.A.A.W)- bya muwandiisi] era ne WAHYI (obubaka) nabwo busigalidde mabega mu kifo ky’okugenda mu maaso…N’olwekyo eddiini efanana bw’etyo esanidde eyitibwe ddiini YA SITAANI sso ssi kugiyita ddiini eva ewa Katonda".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zamina Braheen-e-Ahmadiyya , part V, Roohani Khazain, vol. 21 page 306)
. Nga kigambo kya nnaku nnyo era ekikyaamu okukkiriza nti oluvannyuma lwa nnabbi ow’ekitiibwa(S.A.A.W) omulyaango gw’obubaka gwa galibwaawo Ddala era tewakyaali na ssuubi nti guliggulibwaaawo nate okutuusa ku lunaku lw’enkomelero-Kale mmwe mugila mwesiinza enfumo.Dala kisoboka: e Ddiini etalina mukululo gwa Allah okuyitibwa e Ddiini?…Nze kale ng’amba,era nday ira mu linnya lya Allah, tewali mu myaaka gyaffe gino atamiddwa Ddiini eyo nga nze.Eddiini eyo nze ngiyita Ddiini ya sitaani era ssi kya kusaasila (kya katonda) era nzikkiriza nti eddiini eyo ebeera eyolekeza muntu eri muliro era eziba omuntu amaaso mu bulamu okutuusa lw’afa.
(bino bikoppeddwa okuva mu kitabo aky’aba kadiyani ekiyitibwa:zamina braheen-e-ahmadiyya part V)
MIRZA BYE YAYOGERA KU QUR’AAN
Mirza agamba bw’ati:
"Qur'aan kitabo kya Allah era bigambo bya kamwa kange".
(bino bikopeddwa okuva mu birango eby'aba kadiyani ebyafulumira mu kitabo: Roohani Khazain vol. 22 p. 87 nga 15th March 1897).
Mirza bwe yasoomoozebwa nti ebiwandiikobye birimu ebigambo ebivuma abo abamuwakanya, ye yabaddamu n'agamba nti ne Qur'aan namwo mujjuddemu ebigambo ebitayisika mu kamwa era Mirza kwe kulondobayo ebigambo mu Qur'aan ye bye yagamba nti okusinziira ku mulembe guno bigambo bikyaafu.
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3 p. 115-117).
MIRZA AKYUUSAKYUUSA MU QUR'AAN.
Abantu bakozeseza engeri nnyingi okugikyuusakyuusa ezimu kuzo ze zino:
- Okukyuusakyuusa mu mpandiika
- Okukyuusakyuusa mu makulu n'ezivvunula
- Okukyuusakyuusa mu ntaputa ne nkozesa ya ayats.
- Okusazaamu wamu n'okujjamu amateeka agamu mu Qur'aan.
Mirza emisango egyo gyonna ena yagizza. We wawo teyakyuusakyuusa mu mpandiika ey'olulimi oluwarabu mu Qur'aan naye bw'abeera nga yeesembesa ayats ezimu mu Qur'aan nga bwe kirabika mu bitabobye ebimu,ayats ezo, YAZIKYUUSAKYUUSA NG’AKIKOLA MU BUGENDEREVU.
Enzivvunula n'amakulu ebikyaamu eby'ansinga okwatikilira ennyo mwe muli emu kuzo eya Surat-ul- Al-Ahzaab, ayat ey'ana (33:40) ng'ekwata ku KUFUNDIKIRA OKW'OBUBAKA BWONNA, Bukya kitangala kya Busiraamu kitandika kwaakayakana, Nnaddala okuviira ddala eyo ku Nnabbi Muhammad S.A.A.W okutusiza ddala eno ku myaaka gwaffe guno gwe tulimu, abasiraamu bonna bazze bakimanyi era nga bakikakasa nti ayat eyo ekyasanguza, ekyoleka era n'ekilangilira bulungi awatali kwekkommooma nti okukka kw'obubaka kw'afundikwarwa ne Nnabbi Muhammad S.A.A.W. ekyo ne Mirza Ghulam ahmad, mu biseera by'emyakagye eby'asooka, kye yali akkilirizaamu. Wabula, oluvannyuma endowoozaye ku kino yakyuuka n'atandika okuyiiyayo ennyinyonyola eyiye egamba nti Muhammad (S.A.A.W) SSI Y'ENVUMBO Y'OBU NNABBI wabula ako kaba KABONERO AKAKAKASA okweyongera kw'okujja kwa ba Nnabbi abalala- Ng'alinga agamba nti ALLAH eyatuma ababaka 124,000 kati obwo obuvunanyizibwa abwegyeeko ate n'abukwasa Nnabbi muhammad( S.A.A.W.) Wabula ekisiinga okwewuunyisa:mukiseera kye kimu ne yelangilira nti YE YEKKA NNABBI ADIRIDDE muhammad (S.A.A.W.) Era yye ky’ekitaangaala ekisembyeeyo mu bitaangaala byonna ebya Allah. Mungeri endala, tuyinza okugamba nti ekyo kyelaga bwelazi nti ebyo byonna Mirza Ghulam bye yagezaako okukozesa byaali bya kugalangatanya bwongo bw’abantu nga bwe kilabikira mu nyinyonyolaze eziri mu bitabobye ng'obukodyobwe asobole okumatiza abagoberezi be nti naye yali Nnabbi. Bwe yamala okuggulawo omulyango gw’obwa Nnabbi ogwa KHATME NABUWWAT, n’aguyingira ate amangu ago n'aguggala. Kano ssikabonero ak’enkukunala ak'omubbi kasomolera?
Era mungeri y'emu abasomi baffe mukilabye nga Mirza bwe yakozesa ayats ezo ezisuutasuuta n'okugulumiza Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ate yye n'azikyuusa n'azepaatiikako mbu zaali zisutasuuta n'okugulumiza yye nga mirza.
Ekikolwa KY’OKUSAANYAAWO ENJIGIRIZA EYAGAZISA ABANTU JIHADI , Mirza Ghulam Ahmad kye yakola, kya kulabirako eky'eyolefu ekilaga nga bwe yatigiinya n'okuzanyira ku mateeka ga Qur'aan. Ka mbaweeyo eky'okulabirako kimu kinatumala.
Yagamba bwati:
· "Okutandika n'olwaleero NZIYIZZA omuntu yenna okukozesa ekitala ng'alwaana mu kkubo lya Allah nga kino ekilagiro kivudde wa ALLAH. Okuva n'olwaleero oyo yenna anaasitulanga ekitala ng'akyolekeza omukafiri yenna era nga yeyita Ghazi, oyo ajja kubeera ng'ajemedde oyo omubaka (S.A.A.W), eyatugamba ,kati emyaaka 1300 egiyise, nti oluvannyuma lw'okujja kwa Masiih eyalaganyisibwa Jihadi zonna ez'ebitala zigenda kukoma. Kati oluvannyuma lw'okujja kwange (nze mirza) TEWAKYALIWO NTALO ZA BITALA. Eno ku ludda olwaffe kati tuwanise bendera ya mirembe na mukwano".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: collection of advertisement p. 295, vol. 3)
· "Okuviira ddala eyo mu buto bwange okutuusiza ddala eno kati nga mpeza emyaaka 65 egy'obukulu bwange,ekiseera kino, nkimaze nga nkozesa ekalamu n'olumili lwange okutuukiriza omulimu omukulu ennyo nga gwe gw'okukyuusa emitima gy'abasiru (abasiraamu)".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Kitab-ul-Bariyya, Roohani Khazain vol. 13 p. 350)
· "….ku lwa Gavumenti ya Bungereza, maze okukuba mu kyaapa era ne nsaasaanya obutabo 50,000 munda mu gwanga (Buyindi) wamu ne mu mawanga g'obusiraamu mangi (nga mpakanya Jihad)… ekivudde mu kino kwe kubeera nti enkumi n’enkumi z'abantu bamaze okulekayo endowooza zabwe envundu eza Jihad"
· (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain 15 p. 114)
MIRZA N'ABASIRAAMU
Mirza yabuuzibwa ekibuuzo nga kikwata ku Busiraamu era naye naddamu ebigambo ebitasanidde muntu yenna kubisubwa kubisomako. Ebigambo bino bisangibwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Haqiifat-ul wahyi.
· EKIBUUZO: "Huzoor-e-aali agenda ayogera mu bifo bingi nti si kirungi okuyita omu KAFIRI nti Kalima-go (kitegeeza oyo ayogera Kalima) era okumuyita Ahli-qibla, kibo kiba kyelaga bwelazi nti ng'ogyeeko abo abakkiriza oluvannyuma abakafuwala olw'obutakukkiriza, nga bakuwakanya buwakanya, tewali afuuka mukafiri. Wabula ate ggwe wawandiikira Abdul Hakiim Khan nti omuntu yenna atusiddwako obubakabwo naye n'atakukkiriza, oyo ssi musiraamu. Tufuna okukontana mu bigambobyo bino n'ebyo bye tusanga mu bitabobyo eby'asooka. Emabegako, wawandiika mu kitabokyo ekiyitibwa Tiryaqul-Quloob n'ebilala ng'ogamba nti tewali ayinza kukafuwala olw'okkuwakanya ate kati wekyuusizza era owandiika nti oyo yenna akuwakanya abeera akafuwadde!".
· OKUDIBWAMU: "Kino kyewunyisa okubeera nti omuntu atakkiliriza mu nze n'oyo ampita omukafiri, ggwe bombi obatwala nti ba njawulo. So ng'ate mu maaso ga Katonda bombi babeera kye kimu; olw'ensonga nti oyo yenna ampakanya olw'okubeera nti antwala okuba omuzuuzi….ate ssi ekyo kyokka, n'oyo atakkiriza nze, abeera takkiriza Katonda n'omubakawe kubanga ebigambo bya Katonda n'omubakawe byonna binjogerako".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Haqeeqat-ul Wahyi, Roohani Khazain vol. 22 p. 167).
· Singa ogyako ABAANA BA BAMALAYA, bo abo emitima gyaabwe Katonda yagitekako envuumbo, naye abasigadde bonna bankakasa era ne banzikkilirizaamu".
(Bino bikopeddwa okuva mukitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Aina-e-Kamalat-e-Islam, Roohani Khazin vol. 5 p. 547).
· "Katonda asizza obubaka gyendi nga ang’amba nti oyo yenna maze okutuusibwaako obubaka bwe nzize nabwo oluvannyuma natanzikkiriza, oyo tabeera musiraamu
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Letter to Mirza to Dr. Abdul Hakeem Khan Patialvi)
· Nfunye obubaka okuva ewa Katonda nga bung’amba nti: Oyo yenna atakugoberlera era natayingira mu Baith yo era nasigala ng'akulwanyisa, abeera ajeemedde Katonda n'omubakabawe. Ng'anabeera alabye".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Adverstisement in M'ayaar-ul-Akhyar of Mirza Ghulam p. 8).
· "Musanidde mujjukire Katonda bwe yang'amba nti kigamiddwa era kiziyiriziddwa ddala eri omuntu yenna okusaalira esswalah ye emabega w'oyo atali mukkiriza wamu n'oyo eya kyuukira ku bisinziro bye (n'atangobelera) wabula musanidde okubeera nga mufanana mu bukkiriza (iman)
· (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Arbaeen No. 3 Roohani Khazain vol. 17 p. 417).
OKUWUUMBAWUUMBA
Abagalwa abasomi baffe!
Nina esuubi nti wano wetutuuse mumaze okufuna ekifananyi ekyeyolefu ekitalimu kubuusabuusa kwonna ekitulaze wa omusajja ono w'ayimiridde ku Busiraamu era na kiki Mirza kyaali. Ebyo byonna bye yelerejja nabyo mbu yali omuntu eyali atamiziddwa n'omukwano gwe yalina eri Nnabbi w'obusiraamu, kaali kakodyo ka kusendasenda basiraamu bambi abaali abatalina kye bamanyi kinene kyannyo ku Ddiini yaabwe basobole okuyingira mu nzikkiriza y'ekibiina eky'aba Kadiyani oba kiyite eky'aba Ahmadiyya.
Ebibuuzo bino wamanga buli musomi asanidde abyebiize.
· Ddala ebigambo ebyo waggulu ebyogeddwa bituufu oba nedda?
· Bwe bibeera nga bituufu, kisoboka okugamba nti Mirza Ghulam Ahmad, omutandisi w'ekibiina ky'aba Ahmadiyya, yasuutasuuta nnyo wamu n'okutendereza Saidina Muhammad (S.A.A.W) oba yatyooboola mutyooboole na kumuvuma?
· Omuntu ng'oyo kiyinzika omutwegwe okubeera nga mulamu?
· Ddala omuntu oyo asanidde okuyitibwa omusiraamu?
· Lwaki ekibiina ky'aba Ahmadiyya Movement kikweeeka ebigambo n'ebikolwa by'omutandisi w'ekibiina kyaabwe?
· Lwaki ekibiina ky'aba Ahmadiyya Movement kifaayo nnyo era ne kiwankira wankira nnyo okuwa ekifananyi eky'oludda olumu olwokka ekilaga nga Mirza Ghula Ahmad bwe yali omugoberezi era omwagazi owa Nnamaddala owa Nnabbi ( S.A.A.W)?
Eyo yonna ensalawo gy'onooba ofunye ku ye, gigerageranye neyo Mirza ghulam ahmad yennyini gye yelonderawo ku ki kyaali bwe yatontoma ekitontome kino wamanga:
"Ow'omukwano, nze nsiringanyi! Sili muntu
nze kitundu ekikozesebwa mu by'obugwenyufu ku basajja era ekifo eky'ensonyi ku Bantu
KANO KETEGEREZE: Amakulu g'ebigambo ebyakozesebwa mu lurimi olu Urdu bitegeeza ebyo ebitundu eby'ekyaama eby'abantu – (Binyonyoddwa omuwandiisi)
(Kino ekitontome kikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Braheen-e-Ahmadiyya-V. Roohani Khazain vol. 21 p. 127).
Nga mmaliriza nsaba Allah alage era ayakayakanye ekitangala ky'obusiraamu eri abo ab'awubisibwa wamu n'okubuzibwabuzibwa olwa ppokoppoko w'obulimba eyabakolwaako abo abekweeka mu linnya ly'obusiraamu sso ng’ate tebabuli. Nsaba Allah ataase enzikkiriza y'obusiraamu eri obulimba ng'obwo. Amiin.
Assalaamu Alaikum eri abo bonna abagobelera ekkubo eggolokofu.
ANTI AHMADIYYA MOVEMENRT IN ISLAM SYED ABDUL HAFEEZ SHAH
DR SYED RASHID ALI
P.O.BOX 11560
Dibba Al Fujairah
United Arab Emirates
Fax (971 9) 442846
العربية
English
Français
Português
Urdu